Indirimbo ya 484 mu CATHOLIC LUGANDA
484. EBITALIIMU NSA
1. | 1. Eby‟omu nsi byonna, Bwe tubigoberera, Bitulimbira ddala Byonna bitusiriwaza, Ne bwe tubyagala bituggwaako Bituleetera n‟emisango. Ekinaasinga; Tugoberere Katonda. |
2. | 2. Ekitaliimu nsa: Kwe kukuluumulula Ebyobugagga byonna Obutali bwa kusimba Ebikolwa byaffe ebirungi Bwebugagga bwaffe bwennyini Bwe bw‟amazima, Bwokka bwe butalimba. |
3. | 3. Ekitaliimu nsa: Kwe kululunkanira Ekitiibwa eky‟omu nsi, Era n‟okwegomba obwami, Ekitiibwa kyaffe ffe abakristu; Kwe kubeera abatuukirivu: Bwe bwami bwokka Obusiimibwa Katonda. |
By: W.F. |