Indirimbo ya 488 mu CATHOLIC LUGANDA

488. KATONDA AGULUMIZIBWE


1.1. Katonda agulumizibwe Agulumizibwe.
2.2. Erinnya lye ettukuvu,
ligulumizibwe, ligulumizibwe.
3.3. Yezu Kristu Katonda ddala era omuntu ddala,
agulumizibwe, agulumizibwe.
4.4. Erinnya lya Yezu
ligulumizibwe ligulumizibwe
5.5. Omutima gwe omutukuvu ennyo,
gugulumizibwe gugulumizibwe.
6.6. Omusaayi gwe ogw‟omuwendo ennyo,
gugulumizibwe, gugulumizibwe.
7.7. Yezu mu Ssakramentu Ettukuvu ennyo erya Altari,
agulumizibwe, agulumizibwe.
8.8. Mwoyo Mutuukirivu Omukubagiza,
agulumizibwe, agulumizibwe.
9.9. Bikira Maria Omutuukirivu Nnyina Katonda atenkanwa,
agulumizibwe, agulumizibwe.
10.10. Okutondebwa kwe okutukuvu okutaliiko kamogo,
kugulumizibwe, kugulumizibwe.
11.11. Okutwalibwa kwe mu ggulu okw‟ekitiibwa,
kugulumizibwe, kugulumizibwe.
12.12. Erinnya lya Maria eyagatta obubiikira n‟obuzadde,
ligulumizibwe, ligulumizibwe.
13.13. Yozefu Omutuukirivu, Bbaawe Omutukuvu ddala,
agulumizibwe, agulumizibwe.
14.14. Katonda mu Bamalayika be ne mu Batuukirivu be,
agulumizibwe, agulumizibwe,
By: W.F.



Uri kuririmba: Indirimbo ya 488 mu Catholic luganda