Indirimbo ya 489 mu CATHOLIC LUGANDA
489. KATONDA ALAMBUDDE
1. | EGGWANGA LYE Ekidd.: Katonda alambudde eggwanga lye x2 N’alinunula mu mikono gy’abatukyawa abazigu Ng’ajjukira Endagaano ye Entukuvu ne Daudi, Alokole amawanga gonna. |
2. | 1. Atenderezebwe Omukama Katonda w‟amagye, Alambudde eggwanga lye n‟alinunula Asitudde n‟amaanyi ag‟obulokofu Mu nnyumba ya Daudi omuweereza we. |
3. | 2. Nga bw‟ayogera mu kamwa k‟abo abatukuvu, Be Balanzi abaaliwo mu mirembe egy‟edda, Ajja kuwonya abamwesiga abalabe baabwe, Mu mikono gy‟abo bonna abatukyawa. |
4. | 3. Ajja kusaasira Omukama Bajjajjaffe, Ng‟ajjukira endagaano ye ey‟okutujuna, Gye yakuba ne Jjajja Yibraimu Nga ya kutuukiriza mu mirembe gyaffe. |
5. | 4. Nga tumaze okuwonyezebwa abalabe baffe, Tumuweereze Omukama awatali ntengero Mu butuukirivu ne mu bwenkanya n‟obwesigwa Mu maaso g‟Omukama, ennaku zaffe tumwebaze. |
6. | 5. Naawe Omwana oliyitibwa mulanzi w‟Oli mu ggulu, Olikulembera Omukama n‟omutegekera amakubo ge ggwe, Otegeeze obulokofu abantu be, Basonyiyibwe ebibi nga balinda Amajja. |
7. | 6. Olw‟okusaasira okunene Katonda kw‟alina, Waggulu eyo aliggyayo enjuba atulambule, Amulise abatudde mu kizikiza, Alambike ebigere mu kkubo eddamu ery‟eddembe. |
8. | 7. Ekitiibwa kibe kya Kitaffe mu ggulu, N‟Omwana we omu Omulokozi, Wamu ne Mwoyo gw‟atusuubiza, Emirembe gyonna, obutakoma. |
By: |