Indirimbo ya 491 mu CATHOLIC LUGANDA
491. MARITHA OTAWUKA
1. | 1. Maria ne Maritha baayaniriza Kristu mu maka gaabwe, Maria ye n‟asiima okunyumya n‟Omukama ky‟aba asooka, Maritha ye yadda mu kutawuka, Omukama n‟amwerabira Omukama yanenya Maritha nti otawuka, Maritha olimba otawuka nnyo. |
Ekidd: | |
: Maritha otawuka, otawuka nnyo, Ekikulu ekikira ky’oba osooka, Ebyensi biyita ne biggwaawo, Sooka ew’Omukama ye nnannyini byo. | |
2. | 2. Katonda wo y‟asinga by‟oyagala gw‟oba osooka x2 Katonda wo y‟asinga bye weegomba ne by‟otegeka osookanga wuwe. |
3. | 3. Ensi eno erimba nnyo erimba bulungi n‟ekamala Bw‟ekusanyusa oluusi ematiza, ne Katonda omulungi n‟omuleka Ng‟otawuka ng‟odda muli, ng‟onoonya sente y‟esinga Munno oyo akudaagira, obuuka mubuuke ng‟ogenda Eddiini by‟ekusaba, oziimula ebyo n‟okamala Nga otawuka ng‟odda muli, nga ebyokusoma ebyo obisambajja. |
4. | 4. Leka obunafu, fuba naawe, ebyensi eno bikulimba nnyo, Nyweza eddiini olyooke otawuke Leka obunafu mu ddiini, ebyensi eno olibituusa wa? Nyweza eddiini olyooke olokoke Oligamba otya ng‟Omukama ng‟akugobye n‟akwegaana, Nti watawuka n‟okamala. Luliba lumu atuyita nti: Mujje eno mmwe abaanfaako, Mu baganda bange ababonaabona ne twesiima. |
By: Fr. Expedito Magembe |