Indirimbo ya 494 mu CATHOLIC LUGANDA
494. MUJJE TUTAMBULE
Ekidd: | |
: Mujje tutambule ffe ab’oluganda, Nga tuli wamu ffenna abayitiddwa, Ddunda b’atukuzza mu Kristu Omwana we, Tuli kimu ffenna Kitaffe y’omu, Tuli kimu anti Omununuzi omu Tumwatula, tumwekola, tumwebaza nnyo oyo Kristu Omununuzi Tumusimbeko mujje tutambule, tumusimbeko mujje twanguwe, Atutuuse eri Kitaffe eyo mu ggulu. | |
1. | 1. Leero, leero, leero, mpita eggulu n‟ensi ng‟abajulirwa bammwe, Munaakoma wa okulinnya mu bibiri? Oba muli bange mwogere, oba temuli bange musalewo, Mulina kulonda bulamu oba lumbe, mukisa oba kikolimo, Mulondewo obulamu bubajjule, n‟abaana bammwe. |
2. | 2. Leero, leero, leero, mpita eggulu n‟ensi ng‟abajulirwa bammwe, Bwe munaatuusa ebiragiro nze Mukama bye mbawa, Bwe munaayagala nze Mukama n‟amakubo gange, // Mujja kulama, mujja kulama// Mulifuuka bangi, omukisa gwange gulibabeerako. |
3. | 3. Tusazeewo, tusazeewo, tusazeewo Ddunda, ffenna tuli babo. x2 Tukumanyi Ddunda Ggwe Katonda wekka, Tukumanyi Ddunda oli wa buyinza, Byonna by‟otugambye tunaabituusa, tunaabituusanga emirembe gyonna. Bass: Tusazeewo, tusazeewo, tusazeewo Ddunda ffenna tuli babo. x2 Tukumanyi Katonda wekka…. tukumanyi buyinza, Byonna by‟otugambye tunaabituusa, tunaabituusa, Emirembe n‟emirembe, mirembe. |
By: Fr. James Kabuye |