Indirimbo ya 496 mu CATHOLIC LUGANDA

496. MUSANYUKE MMWE ABEESIIMI


1.1. Musanyuke mmwe Abeesiimi mwenna,
Wamu naffe ab‟oku nsi;
Mwetuukira we mutaliggyibwa,
Mwawona ennaku n‟ekibi,
Mmwe Bamalayika abaganzi
Nammwe Abatume n‟Abalanzi,
Bajjajja n‟Abajulizi;
Mujaguze mmwe Abeesiimi!
2.2. Mmwe abaavu n‟abateefu mwejage,
Ab‟ekisa, abalongoofu
Leero mu ggulu gye mutumbidde,
Mmwe muli basanyufu.
Mwenna abaagumiikirizanga;
Mwenna abaayigganyizibwanga;
Mwawangula mukulike!
Muli mu ddembe, mwebale!
3.3. Mmwe nno mikwano gyaffe emyesigwa
Mu ssanyu lyammwe erijjuvu:
Musaasire ffe ababawondera,
Ffe abantu abonoonefu.
Musaasire ffe ababawondera,
Musabire ffe abakyalinda
Mu zzaayiro ery‟okusinda:
Tutuuke mu ggulu lyammwe
Ewa Katonda omwagale.
By: M.H.



Uri kuririmba: Indirimbo ya 496 mu Catholic luganda