Indirimbo ya 499 mu CATHOLIC LUGANDA
499. NDI MUKRISTU
1. | 1. Nkakasa ndi mwana wa Katonda, Ggwe sitaani wenna nkwegaana Era ate ndi mwana wa Maria Bulijjo n‟emirembe gyonna. Ekidd.: Ndi mukristu, ndi mukristu: Nzikiriza leero ne bulijjo; Nzikiriza leero ne bulijjo. |
2. | 2. Nkusinza Ggwe oli Mutonzi wange, Ggwe eyatonda ensi n‟eggulu, Nkusinza Ggwe Patri, Ggwe Mwana we, Naawe Mwoyo Mutuukirivu. |
3. | 5. Ndeseeyo okwesiga ebintu by‟ensi, Kaakano sikyafa ku lumbe; Obanga Yezu ye mulamuzi, Maria Nnyina we ye mmange. |
By: W.F. |