Indirimbo ya 500 mu CATHOLIC LUGANDA
500. NDI MUKRISTU NDI MUSOMI
1. | (Fr. Gerald Mukwaya) Ekidd.: Ndi mukristu ddala ddala nze Mu Eklezia Katolika Ne njatula nga ssibalimba -a Ndi mukristu ddala ddala. |
2. | 1. Erinnya erya Batismu 4. Ebiragiro bye watuwa, Lye lisinga gonna ge nnina, Olw‟okutwagala ayi Mukama, Yezu Kristu yalintuuma, Mpa okubikwata okubinyweza, Mu Ssakramentu lya Batismu. Olw‟okukwagala ayi Mukama. |
3. | 2. Kitaffe Paapa Omutukuvu, 5. Amasakramentu ge watuwa Ng‟ali wamu n‟Abasumba be, Ka ngeyune ennaku zonna, Y‟akulembera Eklezia, Olwo nga nkuza Obukristu, Mu buyinza bwe ayi Mukama. Mbe mukristu ddala ddala. |
4. | 3. Ndi mukristu ndi musomi, 6. Okwegayirira okukristu, Maria Nnyabo Ggwe mmange, Mu bulamu buno obw‟oku nsi, Ggwe Nnyina wa Eklezia, Sikirekeka wakyogera, Eyatuzaalira Omulokozi. Ayi Mukama nkukkiriza. |
By: |