Indirimbo ya 501 mu CATHOLIC LUGANDA
501. KATONDA KUUMA PAAPA
1. | (Fr. James Kabuye) 1. Katonda ow‟obuyinza kuuma Kitaffe Paapa. Musumba w‟abatonde, nyweza Kitaffe Paapa, Akulembera Eklezia wo, ayigirize Ekigambo kyo. Mwoyo Mutukuvu amuyambenga, Ng‟alunda abaana bo be wanunula. Ekidd.: Paapa wangaala, Paapa wangaala, Paapa ggwe Petro, Ddunda akukuume Paapa. |
2. | 2. Katonda ow‟obuyinza, yamba Kitaffe Paapa, Ebizibu by’asanga bingi, abalabe bangi. Abakugaya nabo baweere, abatamanyi na Kigambo kyo, Ettaala y‟eddiini eyake mu Africa, Abakuweereza beeyongere. |
3. | 3. Katonda ow‟obuyinza, yamba Kitaffe Paapa, Amakungula amalungi mangi, abakozi leeta. Tuwe Mwoyo wo ffenna atujjule, tulangirire Ekigambo kyo. Ensi eterebuse efune eddembe lyo, Kuba emulisibwa Ekigambo kyo. |
By: |