Indirimbo ya 505 mu CATHOLIC LUGANDA
505. TULI KIMU MU KRISTU
1. | 1. Ekitiibwa kyo nkibawadde, balyoke babeere kimu, Ekitiibwa kyo nkibawadde basse kimu Kitange, Bayambe basse kimu nga ffe. Bayambe basse kimu Kitange, Bayambe basse kimu bonna. |
Ekidd: | |
:Tuli kimu mu Kristu tuli kimu ffenna, Tuli kimu mu Kristu tuli kimu ffenna. x2 | |
2. | 2. Obuyinza bwo mbubawadde balyoke banywere wamu, Obuyinza bwo mbubawadde, basse kimu Kitange, Bayambe basse kimu nga ffe, Bayambe basse kimu Kitange, Bayambe basse kimu bonna. |
3. | 3. Ebitone byo mbibawadde, balyoke basinze kimu, Ebitone byo mbibawadde basse kimu Kitange, Bayambe basse kimu nga ffe, Bayambe basse kimu Kitange, Bayambe basse kimu bonna. |
4. | 4. Abakumanyi mbalagidde, banywere mu kwagalana, Abakumanyi mbalagidde basse kimu Kitange, Bayambe basse kimu nga ffe, Bayambe basse kimu Kitange, Bayambe basse kimu bonna. |
5. | 5. Kati kye nsaba kubakuuma, balyoke balangirire, Kati kye nsaba kubakuuma ng‟obagumya Kitange, Bayambe ng‟obagumya Taata, Bayambe ng‟obagumya Kitange, Bayambe ng‟obagumya bonna. |
By: Fr. James Kabuye |