Indirimbo ya 506 mu CATHOLIC LUGANDA
506. TWEBAZE MAPEERA
Ekidd: | |
: Beebale Amansi ne Mapeera Beebale abaaleeta ekitangaala. 1. Twebaze Mapeera Ne munne Amansi Abasaale baffe Abaaleeta eddiini eno. | |
1. | 2. Leo Omugenzi Paapa mu budde obwo Ko ne Laviziri Be baabasindika eno. |
2. | 3. Kkumi na musanvu Februari omwezi Lukumi mu lunaana Nsanvu mu mwenda. |
3. | 4. Baayita mu nkoola Mu bibira ebingi Mu mayengo mangi Ne bagoba e Kigungu. |
4. | 5. Basanga Muteesa Ng‟abalindiridde N‟abawa ekyalo Ye Lubya mu Kyaddondo. |
5. | 6. Baasomesa abantu Baawonya abalwadde Baabonaabonanga Kyokka nga basanyufu. |
6. | 7. Muteesa yafa mangu Mwanga Omusika we N‟ayigganya eddiini Ng‟ayagala eve mu nsi. |
7. | 8. Abasomi bangi N‟abayigganya atyo Abamu n‟abookya Mu kifo Namugong |
By: Fr. Gerald Mukwaya |