Indirimbo ya 509 mu CATHOLIC LUGANDA
509. YEE MMANYI, MMANYI NZE
1. | (Joseph Kyagambiddwa) I II 1. Yee! Mmanyi mmanyi nze Katonda gy‟ali Gy‟ali Omutonzi wange Byonna yabikola, ye Lugaba nnyini byo. Nzikiriza nnyo ssibuusabuusa Katonda gy‟ali Ssewannaku Ddunda, Muwamirembe. |
2. | 2. Nze nnali mmunoonya Katonda gy‟ali Atonda, Taata byonna; Byonna yabikola, ye Lugaba nnyini byo. N‟asindika Mwana wuuno mu nsi! Katonda gy‟ali Ssewannaku Ddunda, Muwamirembe. |
3. | 3. Omukama Yezu Katonda gy‟ali Omu ku lwaffe ffenna Byonna yabikola, ye Lugaba nnyini byo. Ddala Omutonzi yanunula ensi. Katonda gy‟ali Ssewannaku Ddunda, Muwamirembe. |
4. | 4. Bwe yatuuka Yezu, Katonda gy‟ali Ng‟ensi yafa dda yonna: Byonna yabikola, ye Lugaba nnyini byo. Sserumenya mpiima olumbe lwasse!Katonda gy‟ali Ssewannaku Ddunda, Muwamirembe. |
5. | 5. Ka naye mmusinze, Katonda gy‟ali Mwoyo Mutuukirivu Byonna yabikola, ye Lugaba nnyini byo Nnabasatwe: Taata, Mwana, Mwoyo. Katonda gy‟ali Ssewannaku Ddunda, Muwamirembe. |
6. | 6. Otusaasire ffe, Katonda gy‟ali Era otuyambe ffenna: Byonna yabikola, ye Lugaba nnyini byo Tukwesiga nnyo Katonda waffe. Katonda gy‟ali Ssewannaku Ddunda, Muwamirembe. |
7. | 7. Gwe nsinza, gwe nsinza – Juna Gwe nsinza, gwe nsinza – Juna Gwe nsinza, gwe nsinza – Juna Gwe nsinza, gwe nsinza – Juna |
8. | 8. Mbikkulira, ayi amazima, Ssebo – Juna Gamulisenga ne nkulaba – Juna Bwe ndiba nkutuuse gy‟olamula – Juna Nze sikuvengako mu bwakabaka – Juna x2 |
9. | 9. Ndayira Katonda wange, mmumanyi eyantonda, – Ndayira Katonda wange mmumanyi w‟ali! Ndayira Katonda wange, mmumanyi eyantonda, – Ndayira Katonda wange mmumanyi w‟ali! Ndayira Katonda wange, mmumanyi eyantonda, – Ndayira Katonda wange mmumanyi w‟ali! |
By: |