Indirimbo ya 10 mu CATHOLIC LUGANDA

10. LEERO TUNAAKUTENDA


1.Leero tunaakutenda..
Yee Ddunda, Katonda
Oli wa kitiibwa, tunaakutenda
Ye Ggwe Katonda mwene
Yee Ddunda, Katonda
Oli wa kitiibwa tunaakutenda
2.b) Tukwagala nnyo Mukama waffe
Yee, Ddunda, Katonda
Oli wa kitiibwa tunaakutenda
Tukwesiga nnyo Mukama waffe
Yee, Ddunda Katonda
Oli wa kitiibwa tunaakutenda
3.c) Tunaalitenda…
Erinnya lyo Buli olukedde…
Erinnya lyo Mukama ow‟obuyinza byonna abisinga…..
Olw‟ekitiibwa kyo Ddunda, buli lunaku (tunaakutenda) x2
4.Amawanga gonna ganaakutenda
Yee Ddunda Katonda
Oli wa kitiibwa tunaakutenda
Amazadde gonna ganaakuyimba
Yee Ddunda Katonda
Oli wa kitiibwa tunaakutenda
5.b) Tukwekola nnyo Mukama waffe….
Yee Ddunda Kagingo
Oli wa kitiibwa tunaakutenda
Tukwesiga nnyo Mukama waffe..
Yee Ddunda Kagingo
Oli wa kitiibwa tunaakutenda.
6.c) Tunaalitenda
Erinnya lyo Buli olukedde
Erinnya lyo Mukama ow‟obuyinza byonna abisinga….
Olw‟ekitiibwa kyo Ddunda, buli lunaku (tunaakutenda). x2
7.Mujje ffe b‟anunudde..
Yee Ddunda Katonda
Oli wa kitiibwa tunaakutenda
Mujje abalondemu be…
Yee Ddunda Katonda
Oli wa kitiibwa tunaakutenda.
8.b) Tukwagala nnyo atatusuula…
Yee Ddunda Katonda
Oli wa kitiibwa tunaakutenda
Tukwagala nnyo atatudaaza…
Yee Ddunda Katonda
Oli wa kitiibwa tunaakutenda.
9.c)Tunaalitenda…
Erinnya lyo Buli olukedde..
Erinnya lyo Mukama ow‟obuyinza byonna abisinga …
Olw‟ekitiibwa kyo Ddunda,
buli lunaku (tunaakutenda). x2
10.Ebitonde byonna binaakutenda
Yee Ddunda Mutonzi
Oli wa kitiibwa tunaakutenda
Buli ludda lwonna lunaakutenda
Yee Ddunda Mutonzi
Oli wa kitiibwa tunaakutenda.
11.b) Birya butaala ne byegazaanya
Yee Ddunda Mutonzi
Oli wa kitiibwa tunaakutenda
Bikwekola nnyo ggwe atabisuula
Yee Ddunda Mutonzi
Oli wa kitiibwa tunaakutenda.
12.c) Tunaalitenda…
Erinnya lyo Buli olukedde
Erinnya lyo Mukama ow‟obuyinza byonna abisinga
Olw‟ekitiibwa kyo Ddunda, buli lunaku (tunaakutenda). x2
13.Ggwe Kitaffe yonna tunaakutenda
Yee Ddunda, Kagingo…
Oli wa kitiibwa tunaakutenda
Tumutende ffenna Katonda Mwana Yee Ddunda Osaana
Oli wa kitiibwa tunaakutenda.
14.b)Tukwagala nnyo Mwoyo atuyamba
Yee Ddunda, Osaana
Oli wa kitiibwa tunaakutenda
Tukwesiga nnyo Nnabasatwe Ggwe Yee Ddunda Katonda
Oli wa kitiibwa tunaakutenda
15.Tunaalitenda..
Erinnya lyo Buli olukedde…
Erinnya lyo Mukama ow‟obuyinza byonna abisinga
Olw‟ekitiibwa kyo Ddunda,
buli lunaku tunaakutenda,tunaakutenda.
By: Fr. James Kabuye



Uri kuririmba: Indirimbo ya 10 mu Catholic luganda