Indirimbo ya 103 mu CATHOLIC LUGANDA

103. KA TUGENDE


Ekidd:
:Ka tugende ku mbaga y’Omukama atuyita
Yezu Kristu atwagala,
Yezu Kristu atwagala nnyo!
1.Musumba owange gwe ntenda
Musumba owange y‟annunda
Wuuno Omuliisa ow‟ekitalo.
2.Mu ddundiro eyo gy‟antwala
Annundira eyo ng‟andiisa
Awali ebirungi eby‟ekitalo.
3.Erinnya lye nze lye ntenda
Annambika, Mukama antwala;
Nange kati nno nneesiima!
4.Anaatutiisa oyo y‟ani?
Mukama waffe nga ali awo
Yezu atuliisa ye atalemwa.
By: Fr. Joseph Namukangula



Uri kuririmba: Indirimbo ya 103 mu Catholic luganda