Indirimbo ya 104 mu CATHOLIC LUGANDA
104. KA TUSANYUKE
Ekidd: | |
:Ka tusanyuke ffenna ababatize Yezu b’ayise ffenna ffe ku mbaga ye! Tulifa lumu kyokka tuliva emagombe eri n’obuwanguzi! Nnyini bulamu ffenna alituzuukiza! | |
1. | Nze kuzuukira: anzikiriza ne bw‟alifa Aliba mulamu: Yezu y‟akigamba! |
2. | Nze kuzuukira, angoberera ndiba naye, Nga mmuzuukiza, ndijja nze mmutwale. |
3. | Yezu gw‟ofunye, kyakulya ddala, tomwewala Y‟alikulamya! Yezu bwe yagamba! |
4. | Yezu gw‟ofunye, kyakunywa ddala tuba naye Wa lubeerera, bw‟atyo bwe yagamba! |
5. | Yezu gw‟ofunye, ye Muganzi wo alizuukiza Abamumanyi! Bw‟atyo bwe yagamba! |
6. | Yezu gw‟ofunye, ggwe musuubize , okuva kati Oli muddu we! Nyweza bye yagamba. |
By: Fr. James Kabuye |