Indirimbo ya 107 mu CATHOLIC LUGANDA
107. MAZIMA NNEEGOMBA NNYO
Ekidd: | |
: Mazima nneegomba nnyo mmutuuke eyantonda Eyo mu ggulu nange mmutuukeko, aa Nja kunyiikirira nnyo okukola by’andagira, Ka nfunvubire, lulikya ne ntuuka. | |
1. | Nneegombera ddala mbeere ewa Katonda wange …… Nneegombera ddala Kiwamirembe Lugaba atwesiimya |
2. | Nneesungira ddala okutuuka mu ggulu …… Nneesungira ddala Ewa Katonda wange oli eyantonda |
3. | Eri waggulu awaladde abalungi beesiima …… Beesiima Oyo Kiwamirembe Lugaba tabajuza ………. |
4. | Abali mu ggulu baawaayo obulamu bwabwe…….. Abali mu ggulu Nange nneewaddeyo ew‟Omukama |
5. | Nange ng‟onnyambye, Mukama nja kusobola ……. Mukama nja kusobola Kiwamirembe Lugaba, tonsuula |
By: Fr. Expedito Magembe |