Indirimbo ya 108 mu CATHOLIC LUGANDA
108. MIREMBE, OMUKAMA, AYI YEZU OMWAGALWA
1. | Mirembe Omukama! Ayi Yezu omwagalwa! Siyinza kwogera; Leero nkusinze ntya? Mujje mwe Bamalayika, Nammwe bannaggulu mwenna: Tusinzize wamu Nnyini butukuvu. |
2. | Ayi Yezu nkwebaza, Ku lw‟okunkyalira! Leero nkweyanze ntya Nga bwe kisaanira? Essanyu limbugaanye nnyo Nga nnekkaanya ebitone byo Onnyambye weebale Wamma Ggwe onsaasidde! |
3. | Ayi Mmanu entukuvu, Mugaati gw‟eggulu, Tuwe obunyiikivu, N‟ensa mu mirimu; Ggwe ntanda y‟abatambula, Ggwe ndasi z‟abazirika, Ggwe ddaala ettukuvu, Tulinnyise eggulu! |
By: M.H. |