Indirimbo ya 109 mu CATHOLIC LUGANDA
109. MUGGULEWO YEZU ATUUSE
Ekidd: | |
: Muggulewo, muggulewo Yezu atuuse Ayingire, ayingire mu mitima egyammwe, Nneesiimye leero nange Okukyaza nze Omulokozi. x2 | |
1. | Mulabe amagero Katonda Mwana, Mulabe amagero okujja omwange. Nze ani nze gw‟okyalidde, Nze ani nze nange omwolo? |
2. | 2Oh Kristu Ggwe Katonda, O Kristu ggwe Akaliga; O Kristu Ggwe Omukama, Osiimye otya okujja omwange? |
3. | Laba ekitiibwa kye nfunye nze, Okukyaza omutonzi w‟eggulu; Sso nga nze sisaanidde, Leero nange nneesiimye. |
4. | O Omukama Ggwe Katonda, Leero nange akukyazizza; Nze nfuuse ennyumba yo kati, Nsiimye nnyo okujja omwange. |
By: Jjuuko K. Ben. |