Indirimbo ya 11 mu CATHOLIC LUGANDA

11. LINO LYE GGWANGA LYA KATONDA


1.Lino lye ggwanga lya Katonda,
eryalondwa Ddunda waffe,
Ligattibwa n‟ekigambo kye,
eryaganja ewa Katonda,
Y‟Eklezia wa Kristu.
2.Ekiggwa ekyazimbwa luli edda,
ku musingi omunywevu ennyo,
Ku Kristu ejjinja ly‟ensonda,
kye Kiggwa ekyo ekya Katonda,
Y‟Eklezia wa Kristu.
3.Eggwanga ezzaale mu Batismu,
erya Mwoyo Mutuukirivu,
Anti atuula mu kino Ekiggwa,
eggwanga Yezu mw‟abeera
Y‟Eklezia wa Kristu.
4.Eggwanga eritemagana ennyo,
olw‟enneema ya Kristu oyo,
Eggwanga erisikira enneema,
eryesiga Yezu Kristu,
Y‟Eklezia wa Kristu.
5.Likkiriza Kristu by‟agamba,
libituusa mu kwagala,
Litudde nga teritya nsi eno,
eryesiima ne Katonda,
Y‟Eklezia wa Kristu.
By: Fr. James Kabuye



Uri kuririmba: Indirimbo ya 11 mu Catholic luganda