Indirimbo ya 110 mu CATHOLIC LUGANDA

110. MUJJE MMWE ABAYALA


Ekidd:
: Mujje mmwe abayala
Mujje tugende ewa Yezu
Mujje mmwe, abayala
Mujje tugende ffe atujuna.
1.Tuli babo, Yezu owaffe ggwe omuzira Ffe abayala
Tuli babo, Yezu owaffe, tukwesiga.
2.Tuzze wamu, tuwe ebirungi eby‟obulamu
Tuzze wamu, tuwe ebirungi tukwesiga.
3.Tussa kimu. Yezu owaffe, otwagala
Tussa kimu, Yezu owaffe tulunngamye.
4.Tuzze wamu, Yezu owaffe otujuna
Tuzze wamu, Yezu owaffe tulunngamye.
5.Tuzze kulya, tuwe omubiri gwo ogw‟obulamu
Tuzze wuwo, tuwe ebirungi tukwesiga.
6.Tuli babo, Yezu owaffe, tuzze wamu
Tuzze wamu, Yezu owaffe, otubbule.
7.Tuzze kunywa, tuwe Omusaayi gwo ogw‟obulamu
Tuzze wuwo, tuwe ebirungi, tukwesiga.
8.Otwagala, Yezu owaffe, otwagala
Tusazeewo, Yezu owaffe okukwesiga.
9.Otwagala, Yezu Omukama, otwagala
Tusazeewo, Yezu owaffe okukwesiga.
10.Tukwesiga nnyo, Yezu owaffe, otuzuukiza
Tukwesiga nnyo, Yezu owaffe, tukwesiga.
11.Tuli babo, Yezu owaffe, tuli babo
Tuli babo Yezu owaffe tuwanguze.
By: Fr. Augustine Mpagi



Uri kuririmba: Indirimbo ya 110 mu Catholic luganda