Indirimbo ya 117 mu CATHOLIC LUGANDA
117. NNAAKUYIMBIRANGA
1. | 1. Nnaakuyimbiranga Ggwe Mutonzi wange, Nnaakutenda ku nsi, Ggwe Katonda wange. Ekidd.: Katonda Lugaba, nja kukwebazanga Nze buli olukedde Ggwe Katonda wange. |
2. | 2. Njagala Katonda okusinga byonna Nnaamuyimbiranga mu bulamu bwange. |
3. | 3. Byonna bye nnina eyabimpa y‟ani? Wabula Katonda eyakola byonna! |
4. | 4. Bwe nsisimuka enkya nga nkutenda mangu N‟ekiro ndowooza ekisa kyo ku nsi. |
5. | 5. Oli wa kisa nnyo, Ggwe Katonda wange, Sirina bigambo bya kutenda byonna. |
6. | 6. Njagala mmale ensi nga nkuweerezanga N‟amawanga gonna gakumanye gonna. |
7. | 7. Ndyeyala bulamba nga nkusinza wansi Ndikuyimbiranga olunaku lwonna. |
By: Fr. James Kabuye |