Indirimbo ya 120 mu CATHOLIC LUGANDA
120. NNEEGOMBA NNYO NZE
1. | (Fr. Expedito Magembe) Ekidd.: Nneegomba nnyo nze okulaba eyantonda Omutima gunnuma anti gunnumira oyo! Ndimulabako ddi nze nno ne mpeera? Ndabe eyantonda, Katonda wange, mmwagala! |
2. | 1. Nneegomba Mukama, ennyota emunnumira Omukama lwe luzzi omwoyo gwange kwe gunywa! Nsulo y‟enneema, Amaanyi agankuuma! Bwe bulamu bwange, Omukama eyantonda. |
3. | 2. Mbeera mu maziga, nkaaba bwe nnoonya; Abalabe bannyiiza anti banjeeja, Nti: Aluwa Katonda wo Katonda atakuyamba? Taata: Yanguwa okunnyamba: ndi bubi! |
4. | 3. Waliwo ekinkeeta ku mwoyo gwange Njagala mmutwalire abamwagala Katonda wange; Nnaayinza ntya nze, oba nga tonnyamba! Mbeera, ayi Mukama, nkuweereze! |
5. | 4. Lwaki onakuwala, ggwe, mwoyo, gwange? Gumira mu Mukama, omwesigenga! Nsinza Kitange, ntenda eyantonda! Essanyu linzita, Katonda wange: ndayira! |
6. | 5. Ekiro n‟emisana, Katonda wange, Mmubeera ku mutima eyannganza! Nnaamusanyusanga bwe nti nga nnyimba; Sijja kukoowa, obulamu bwange! Amazima. |
By: |