Indirimbo ya 130 mu CATHOLIC LUGANDA
130. OMWOYO GWANGE GUGULUMIZA
1. | OMUKAMA (Fr. James Kabuye) Ekidd.: Omwoyo gwange gugulumiza Omukama Omutima gwange gujaguliza mu Katonda Mulokozi wange. |
2. | 1. Omwoyo gwange gugulumiza Omukama, N‟emmeeme yange ejaguliza mu Katonda Mulokozi wange. 2. Kubanga yatunuulira obutene bw‟omuzaana we nze, Okuva leero amazadde gonna ganampitanga wa mukisa. |
3. | 3. Kubanga Nnyini-buyinza yankolamu ebinene, N‟erinnya lye ttukuvu nnyo. |
4. | 4. Ekisa kye ku bamutya bonna, Kibuna amazadde gonna. |
5. | 5. Omukono gwe yagukoza ebyamaanyi, Abaali beekuza mu birowoozo byabwe yabasaasaanya. |
6. | 6. Abobuyinza yabaggya ku ntebe, N‟agulumiza abatene. |
7. | 7. Abayala yabajjuza ebirungi, Abagagga n‟abaleka buggo bonna. |
8. | 8. Yalyowa Yisraeli omuweereza we, Ng‟ajjukira ekisa kye kiri. |
9. | 9. Nga bwe yagamba bajjajjaffe okukigirira Yibraimu n‟ezzadde lye emirembe gyonna. |
By: |