Indirimbo ya 131 mu CATHOLIC LUGANDA
131. ONNEEWADDE, YEZU
1. | (Fr. Joseph Namukangula) Ekidd.: Onneewadde, Yezu onkyalidde, nneesiimye Leero nneeyanze ntya, Yezu, weebale Onneewadde, Yezu onkyalidde, nneesiimye Yezu owange! |
2. | 1. Ono omukungu gwe nkyazizza Yezu Katonda w‟eggulu, onneewadde! Nze omuddu wo nno gw‟okyalidde, Yezu, Owekitiibwa, leero ombiise! |
3. | 2. Luno oluyimba lwe nkooloobya, Yezu Nze olw‟okukwebaza, siddirira! Katonda w‟eggulu ankyalidde, Yezu Leka nkuyimbire, ozze omwange. |
4. | 3. Mmwe Bamalayika abamuyimba, Yezu Mwetabe tuyimbe ffenna! Nze nnaamutenda n‟abomu nju, Yezu Ye ono Omulokozi ali ewange. |
5. | 4. Kati ggwe naaza gw‟okyalidde, Yezu N‟Omusaayi gwo ogwayiika; Kati tukuza by’osanzeemu, Yezu Nfuuke mulungi nzenna Yezu. |
6. | 5. Ng‟ako akaseera kantuuseeko, Yezu Ak‟okufa tugende ffenna, Nze tonjabulira, onkuumanga, Yezu Ntuukeko eyo eka ewaffe. |
By: |