Indirimbo ya 132 mu CATHOLIC LUGANDA
132. OTUMBIDDE WAGGULU EYO
1. | (Fr. James Kabuye) 1. Ayi Mukama atendebwa, Kitaffe Ggwe watutonda, Ggwe agaba obulamu Nga wayoleka amaanyi go, Omuyinza Ddunda b‟oganza, bakutende nnyini. |
Ekidd: | |
: Otumbidde ddala waggulu eyo Mu Bwakatonda bwo obutaggwaawo Otumbidde ddala waggulu eyo Mujje tumwebaze, ye Mukama waffe. | |
2. | 2. Tukuwa ettendo ffenna wamu mu nnyimba Ffe nno b‟olyoye na bonna eyo gy‟oli Bikuyimba Ggwe eby‟oku nsi ebitonde, Anti Ggwe ofuga bye watonda enkumu. |
3. | 3. Ndi musanyufu nga sirina kudaaga W‟oli, siijule, Ggwe omulungi bw‟otyo Lwe nnakuyita mu bizibu Kitange Wajja n‟onnyamba, ka nkutende Ssebo. |
4. | 4. Ayi Mukama abaana bo abalonde Twebaze Ssebo, Ggwe atuganza bw‟otyo, Nga wayamba ffe ne tugoba sitaani, Tuyitwa abaana be walyowa, Ssebo. |
5. | 5. Mwoyo Mukama, Mutukuvu Omutendwa, Patri ne Mwana mwenkanye ettendo Ggwe wabituwa ebitone byo mu bungi, Wajja n‟ewaffe otuule Ggwe mu ffe. |
By: |