Indirimbo ya 140 mu CATHOLIC LUGANDA
140. TWANIRIZE KRISTU OMUGENYI
1. | OMUKULU (Kayongo Ponsiano Biva) Ekidd.: Twanirize Kristu omugenyi omukulu Ali kati mu ffe wano O! Kya magero kikulu nnyo Yezu okujja n’abeera mu ffe, n’afaanana nga ffe! Azze Omusumba Omulungi, alambudde endiga ze, Azze, azze, azze, atuliise. |
2. | 1. Tukwanirizza Kristu, Kristu Ggwe Kabaka waffe (Tulabira wa? x3 Omwagalwa omutiibwa ow‟ekisa, omuteefu. (Tulabira wa? |
3. | 2. Tukwebaza nnyo Kristu, Kristu atuwa Ggwe byonna (Tulabira wa? Eby‟eggulu abireese ka naffe twenyweze. |
4. | 3. Tunaakuwa ki Kristu Ffe nno ffe abankuseere Kiki ddala ekirungi, ku bwaffe? |
5. | 4. Tukwekola nnyo Kristu Kristu Ggwe atugatta ffenna Ow‟ekisa tunyweze ffe mu ggwe tugumenga. |
6. | 5. Tukwagala nnyo Kristu, Kristu Ggwe Omusumba waffe Ffe abantu bo tutwale tulambike otunyweze. |
7. | 6. Tukwesiga nnyo Kristu, Kristu Ggwe omulungi waffe Kulembera otutwale, tuwanguze otutuuse. |
By: |