Indirimbo ya 147 mu CATHOLIC LUGANDA
147. YEZU NNAKWAGALA DDA
1. | (Fr. Expedito Magembe) Ekidd.: Yezu nnakwagala dda ne nkumanya Ggwe Katonda wange gwe njagala! |
2. | 1. Wava mu ggulu eyo n‟ojja omponya N‟onfuula omwana ow‟essanyu. |
3. | 2. Patri Kitange yakundaga dda: Nti ono ye Mwana, mumuwulirenga! |
4. | 3. Yoanna Batista n‟akwanjula Nti: Akaliga kaako akaggyawo ebibi! O……! |
5. | 4. Ku mbaga y‟e Kana weeraga ggwe N‟oyoleka ekitiibwa n‟ekisa kyo! |
6. | 5. Ku Lwokuna Olutukuvu, Mukama wange, Weewaayo Ggwe Yezu, ofuuke mmere! O……..! |
7. | 6. Baakubonyabonya ggwe, wanjagala, N‟onfiirira, Kitange, ku musaalaba. |
8. | 7. Ate wazuukira, Yezu, n‟omponya, N‟onzigulira nze eggulu eryo. |
9. | 8. Buli lunaku, Yezu obeera nange N‟ongabira ebirungi ebyo mu Missa! |
10. | 9. Bwe nkufuna Yezu, liba ssanyu Ate bwe nkufiirwa, ziba nnaku nsa. |
11. | 10. Ka nfiirwe emikwano n‟amasanyu Nneesibe ku Yezu eyanjagala! |
12. | 11. Ebyensi eno Yezu, tibimatiza: Eyeemalira ku Ggwe y‟amatira: O ….! |
13. | 12. Omwoyo gwange, Kristu teguweera: Okuggyako, Ggwe Yezu, nga gukuzudde O …..! |
14. | 13. Nnyamba, nkuweereze Mukama wange; Lulikya, olundi, ne nkulaba: O …….! |
By: |