Indirimbo ya 15 mu CATHOLIC LUGANDA
15. MUSIMBE ENNYIRIRI TUYISE EKIVVULU
1. | Musimbe ennyiriri tuyise ekivvulu mu maaso ga Kitaffe Katonda – Amiina Misimbe ennyiriri tuyise ekivvulu mu maaso ga Kitaffe Katonda Mujje mwatule nga bwe tumanyi Katonda waffe, FFE ABALONDEMU Mujje muwere nti tuli babe emirembe gyonna BANNAMUKISA Mwanguwe mwanguwe mujje tutende Mukama Katonda. |
Ekidd: | |
: Ssirikuleka ndayira nze Mukama wange, Nnakumanya lwa bulungi era nnakwagala dda, Nkusuubiza okukwata by’onngamba Mukama wange Gwe nzirinngana. Ndayira nze sigenda kwetya ndibeera mu abo abaana bo ddala. Ndayira nze sigenda kwetya ndibeera mu abo abakuweereza. | |
2. | Musimbe ennyiriri mulage bwe mutyo nga mwagala Kitaffe Katonda – Amiina x2 Mujje mwatule nga bwe tumanyi Katonda waffe, (ABALONDEMU) Mujje muwere nti muli babe emirembe gyonna (BANNAMUKISA) Mwatule, mwatule, bonna bamanye Mukama Katonda. |
3. | Musimbe ennyiriri muyise ekivvulu, abaana ba Kitaffe Katonda – Amiina x2 Mujje mulage nga bwe mulina Katonda wammwe (ABALONDEMU) Akira bonna anti alamula ensi ye yonna (BANNAMUKISA) Mwatule, mwatule mwenna muyimbe mwebaze Katonda. |
4. | Mutende obutamala, mufube okwebaza, Katonda eyalonda ffe ggwanga lye – Amiina x2 Byonna y‟atuwa ne tufuuka bitonde biggya: (ABALONDEMU), Yatulokola ffe abaana be emirembe gyonna (BANNAMUKISA) Munyumye munyumye yonna mutende Mukama Katonda. |
5. | Muyimbe abaliwo, munyumye by‟akola, Katonda Kitaffe mu Mwana we – Amiina x2 Mujje mwatule nti “Muli kimu muyunnganye sso (ABALONDEMU) Bonna bamanye nti muli kimu mu Yezu mwenna (BANNAMUKISA) Mufube, mufube mwenna munywere ku ono Katonda. |
6. | Muyimbe abasoma, mulabe bwe mutyo, essanyu ly‟abaganza Katonda – Amiina. x2 Mujje mulage nga bwe mumanyi nga bulituuka (ABALONDEMU) Mu ssanyu wamu ne tujaganya emirembe gyonna (BANNAMUKISA) Mwanguwe, mwanguwe, mujje tugende gy‟ali Katonda. |
7. | Mutende obutamala, Lugaba by‟akola eri abatamanyi abo Katonda. x2 Amiina. Bonna bamanye nga bwe waliwo Omutonzi waabwe (ABALONDEMU) Yatulokola ffe abaana be emirembe gyonna (BANNAMUKISA) Munyumye, munyumye yonna mutende Mukama Katonda. |
By: Fr. James Kabuye |