Indirimbo ya 16 mu CATHOLIC LUGANDA
16. NDI MUKRISTU, NDI MUKRISTU
Ekidd: | |
:Ndi Mukristu Ndi Mukristu Nneebaza Katonda Eyannganza bw’ati. | |
1. | Wantonda nze omuntu N‟onteeka ku nsi eno N‟onkuuma bulijjo N‟ebyo bye wampa. |
2. | Watuma Omwana wo Okununula nze N‟onzigyako ebibi Mu Batismu. |
3. | Ebiragiro byo Ebyo sibitenda Anti bitegeeza Bw‟ondabirira. |
4. | Eklezia mwe ndi Erina ebirungi Amasakramentu Agantukuza. |
By: Fr. Gerald Mukwaya |