Indirimbo ya 162 mu CATHOLIC LUGANDA

162. TUJJUKIRE FFE ABAKRISTU


1.1. Tujjukire ffe abakristu
Katonda lwe yatutonda
Ne Mwoyo Mutuukirivu
Lwe yatujjirira ffenna.
2.3. Tumusabe okuwulira
Ebiwoobe by‟abanaku
Taaleme kutusaasira,
N‟atuwa ekifo mu ggulu.
3.4. Ebiro nno bye tulimu
Kiisi amutendereza,
Amwesiimise mu ggulu
Yeeyongere okumutenda.
4.7. Leero tukunngaane ffenna
Okussaamu ekitiibwa
Katonda Mukama waffe
Emirembe n‟emirembe.
By: W.F.



Uri kuririmba: Indirimbo ya 162 mu Catholic luganda