Indirimbo ya 17 mu CATHOLIC LUGANDA

17. NDI MU SSANYU LINGI


Ekidd:
Ekidd: Ndi mu ssanyu lingi
Ndi mu ssanyu lingi
Okuwulira nga tunaagenda
Mu nnyumba y’Omukama. (x2)
1.Nnasanyuka kubanga banngamba nti:
tuligenda mu Nnyumba y‟Omukama.
2.Ebigere byaffe byatuuka na dda mu miryango gyo,
3.Yeruzalemu eyazimbibwa ng‟ekibuga ekyekutte awamu
4.Eyo ebika gye byambuka ebika by‟Omukama,
ng‟etteeka bwe liri, okugenda okugulumiza erinnya ly‟Omukama.
5.Eyo we waateekebwa entebe z‟obulamuzi,
entebe z‟ennyumba ya Daudi.
6.Musabe ebinaaleetera Yeruzalemu eddembe abakwagala babe balungi.
7.Ebigo byo bibe mu ddembe,
n‟embiri zo ziraale zonna.
8.Olw‟okubeera baganda bange ne bannange ndigamba nti emirembe mu ggwe.
9.Olw‟okubeera ennyumba y‟Omukama Katonda waffe,
ndikusabira birungi.
10.Ekitiibwa kibe ekya Patri n‟ekya Mwana n‟ekya Mwoyo Mutuukirivu
11.Nga bwe kyaliwo olubereberye na kaakano na bulijjo,
emirembe n‟emirembe.
Amiina.
By: Fr. James Kabuye



Uri kuririmba: Indirimbo ya 17 mu Catholic luganda