Indirimbo ya 178 mu CATHOLIC LUGANDA
178. LEERO AZAALIDDWA KRISTU
1. | (Fr. James Kabuye) Ekidd.: Leero azaaliddwa wamma twejage, Y’ono omuto Kristu mu mmanvu Mujje twejage, Kristu atuuse (Kabaka) Mwanguwe, mwanguwe, Kristu atuuse. Mwanguwe, mwanguwe, Kristu azze. |
2. | 1. Y‟ono gwe baalanganga obw‟edda Kristu azaaliddwa n‟ajja eno ku nsi, Omwana mulindwa wuuno, Omwana w‟oyo Patri Omwana mulindwa wuuno, Katonda Mwana atuuse. |
3. | 2. Mujje tweyanze ono Kabaka Kristu azaaliddwa eyatonda byonna, Ye Mwana, ye Mwana wuuno, Azaaliddwa mu bwavu. x2 |
4. | 3. Atwagala oyo Kitaffe, Anti ateesezza ffenna atujune, Awadde ensi eno Omwana Y‟anaatuwonya ennaku. x2 |
By: |