Indirimbo ya 18 mu CATHOLIC LUGANDA
18. NGA NNUNGI
Ekidd: | |
: Nga nnungi, nga nnungi Altari yo Mukama wange, Nneegomba mbeere eyo mu mbuga zo gy’Oli! | |
1. | Ayi Mukama Ggwe ow‟amagye nga kisanyusa Ekisulo kyo. Omwoyo gwange gwegomba gwagala kufa, empya z‟Omukama. Omwoyo gwange n‟omutima gwange, bisanyukira mu Katonda omulamu. |
2. | Nga basanyuka obutamala abali kati mu Nnyumba yo, Emirembe gyonna,bagenda kuyimbanga ettendo lyo, Nga beesiimye, Ggwe abakwesiga, emitima gyabwe, gijaguliza mu Mukama. |
3. | Lunaku lumu mu Nnyumba yo, lukira nkumi anti awalala Omulyango gwokka, ku Nnyumba yo kuno Gukira wala, ebisulo byonna, Gukira wala, ebisulo by‟aboonoonyi |
By: Fr. James Kabuye |