Indirimbo ya 192 mu CATHOLIC LUGANDA
192. WULIRA BAMALAYIKA
1. | 1. Wulira Bamalayika Nga bwe bayimba n‟essanyu. Ne beetaba bonna awamu, Mu luyimba olw‟ekitiibwa. Ekidd..: Gloria in excelsis Deo. x2 |
2. | 2. Abasumba ne beekanga, Nga balabye Malayika. Baamulaba ng‟atangaala, Atukula amasamasa. |
3. | 3. Malayika n‟abagamba, Abange muleke okutya. Ka mbabuulire ekigambo, Ekinaabasanyusa ennyo. |
4. | 4. Omulokozi w‟abantu, Olwaleero azaaliddwa. Ye Katonda ow‟omu ggulu Atuuse okubanunula. |
By: W.F. |