Indirimbo ya 194 mu CATHOLIC LUGANDA

194. YEZU KRISTU AZZE


Ekidd:
.: Yezu Kristu azze mu ffe!
Omukondeere ye abunye ekyama
Yezu Kristu azze mu ffe!
Fuuwa enngombe, tujaguze.
1.1. Mmwe Abasumba mujaganye!
Leero mwanirize Omukama
Mmwe Abasumba, mujaganye!
Akawere kabajjidde!
2.2. Mmwe abalungi, musanyuke!
Emirembe tigirizaama;
Mmwe abalungi musanyuke
Eggulu libatuukiridde!
3.3. Mmwe abasobya muwanjage!
Ebibi ne mubyebalama!
Mmwe abasobya muwanjage!
Omuwere abasonyiwe!
4.4. Twetowalize eyeebase
Mu kabanvu nga tuvunnama!
Twetowalize eyeebase
Tweyanze n‟Omuzadde we!
By: M.H.



Uri kuririmba: Indirimbo ya 194 mu Catholic luganda