Indirimbo ya 195 mu CATHOLIC LUGANDA
195. BIKIRA OMUZADDE
Ekidd: | |
: Bikira Omuzadde Ggwe ennaku ekusozze, Ng’olaba Omuzaale attirwa abatonde. | |
1. | 1. Ng‟olaba ebiwundu, emikono agireeze, Ku mutwe kutunze, amaggwa amawanvu. |
2. | 2. Wulira akukwasa, abantu be obazaale, Balumwa bataase, twesiga tubeere. |
3. | 3. Zaaleeta omusajja, ekitala akikutte, N‟asoya Omuzaale, ng‟olaba omuzadde. |
4. | 4. Nga wafa ekitiibwa, omutima omuzadde, Ogwafumitibwa nno, ekitala ekirange. |
5. | 5. Walaba Omuzaale, bw‟alumwa nno ennyonta, N‟asaba ku tuzzi, n‟abulwa amuyamba. |
6. | 6. Ng‟ennaku etukutte, ggwe ow‟ekisa tuyambe, Tuwonye walumbe, yanguwa otutwale. |
By: Fr. James Kabuye |