Indirimbo ya 196 mu CATHOLIC LUGANDA
196. EBENDERA YA KABAKA
Ekidd: | |
: Ebendera ya Kabaka evuddeyo Omusaalaba guuguno gutemagana. Nnyinibulamu gwe yafiirako, N’atuwa obulamu ng’atufiirira. | |
1. | 1. Yasoggwa luli effumu n‟obukambwe, N‟avaamu omusaayi n‟amazzi, Yakubwakubwa emiggo n‟obuswandi, Atunaazeeko ekko ly‟ebibi. |
2. | 2. Byonna byalangwa Daudi ku ebyo ebijja, Ng‟agamba amawanga ag‟essimba. Aliramula Kabaka alifuga ensi, Nnamulondo kw‟ali muti kw‟afiira. |
3. | 3. Mwenna Abasatu ensulo y‟obuyambi, Trinita Katonda Omu bw‟ati, Byonna bikuwe ettendo ery‟obutonzi, Wa tuwangule tutuuke gy‟obeera. |
By: Fr. James Kabuye |