Indirimbo ya 2 mu CATHOLIC LUGANDA

2. EGGWANGA LYA KATONDA


Ekidd:
: Eggwanga lya Katonda – Ffe tuutuno x2
Musembere tusaakaanye
Tukube amavi ffe twebaze Ddala ddala olw’Omukama
eyatwagala
Yatwagala yatwagala
Omukama yatwagala.
Yatwagala, yatwagala
Omukama yatwagala…
Yatwagala, yatwagala
N’ayitiriza.
Yatwagala… N’ayitiriza.
1.Omuyinza wa byonna oyo Nnantalemwa,
Yatunuulira Uganda nga ya nzikiza,
N‟atukwatirwa ekisa n‟atusaasira,
N‟atukolera entegeka, ajje atulokole
N‟atutumira Kristu Omwana we ddala
Ajje atugobeko sitaani eyali atwefuze.
2.Abaminsani abazira besowolayo,
Katonda be yalonda batuuke muno.
Baakola buteddiza baatulungiya,
Baatumanyisa Kristu n‟amazima ge,
Baatukumamu omuliro baatubangula
Eggwanga lya Uganda lyafuuka lirye.
3.Mu kusomesa abantu baali bagumu,
Ng’olaba Mapeera oyo bwe yebuga
Beesiganga Kristu n’abalunngamya
Baakolanga n’amaanyi g’otosuubira
Kyasanyukirwa nnyo ekyo eky’okulokolwa
Kyaviramu n’abangi okubatizibwa.
4.Omukulembeze wa byonna yesowolayo,
Mukasa eyasooka nga wa njawulo.
Kyava mu buyinza obw’Omulokozi
N’agaya ebyensi eno n’abiwangula
N’akulembera bangi ewa Kristu
Mulumba ate n’abalala baamwegattako.
5.===Abazira omusaayi baaguyiwa
Ne guletera Uganda obulokofu,
Twasooka bulungi tulina amaka,
Omutuviira bannaddiini abaliwo kati,
N‟atuwa bakabona abamufaanana
Bakulembere eggwanga ly‟abatambuze.
6.Mu mateeka ga Lugaba kye kiragiro,
Okwagalanga bannaffe tubalokole,
Tteeka lya Kristu ly‟atukuutira,
Bwe bulamu bw‟obutume bw‟ogoberera,
Baakutuuma n‟erinnya ery‟obukristu
Otuukirize ekitundu ky‟obutume obwo.
7.Mu busenze bwa Kristu mw‟atuyitira,
Ekyasa ky‟emyaka kati kiweze
Tuli mu kusinza n‟okumwebaza
Nnamugereka eyajja n‟atuzaawula
N‟atuwonya sitaani n‟obulimba bwe,
N‟atutuusa ku bulamu obw‟olubeerera.
8.Ekibiina kya Mapeera kyayanyirawo
Ng‟omuzadde w‟ensi eno ye Nnamasole
Baamukwasa n‟ensi eno n‟emuwongerwa
N‟atufunyisa enneema ey‟obujulizi
Tutunuulira Maria tuli bagumu
Luliba lumu gy‟ali tulituukayo.
By: Mr. Kamya



Uri kuririmba: Indirimbo ya 2 mu Catholic luganda