Indirimbo ya 202 mu CATHOLIC LUGANDA
202. NNAKOOWOOLA OMUKAMA
1. | N’AMPULIRA (Zab: 7) (Fr. Expedito Magembe) Ekidd.: Mu nnaku zange nnakoowoola Omukama N’ampulira Omukama mulungi asaasira. x2 |
2. | 1. Nkwagala nnyo Mukama wange, Mu nnaku zange tondekerera onnyamba. |
3. | 2. Nkwagala nnyo Mukama wange, wanzigya emagombe, Mukama wange wannyamba nnyo. |
4. | 3. Nkwagala nnyo Mukama wange, Ggwe maanyi gange, N‟obulokofu bwange. |
5. | 4. Nkwagala nnyo Mukama wange Ggwe ngabo yange, N‟olwazi kwe nnyweredde. |
6. | 5. Nkwebaza nnyo Mukama wange ndikutenda, Ne mmanyisa erinnya lyo. |
By: |