Indirimbo ya 207 mu CATHOLIC LUGANDA

207. . OMUSAAYI GWA YEZU


Ekidd:
: Omusaayi gwa Yezu guttulukuka gira olabe
Guttulukuka olw’ensi gutununula,
Tewali kisinga bwagazi, Yezu bwalaga ku Musaalaba
Naffe tusabe enneema ey’okumwagala.
1.1. Singa teyafa Yezu twali basibe.
Singa teyafa Yezu twandigenze wa?
Yatununula abantu n‟abaddiramu
N‟abasonyiwa ekyejo n‟abasaasira.
2.2. Yabonaabona Yezu n‟ayitirira
Yakomererwa Yezu n‟atufiirira
Yafumitibwa enninga n‟alumizibwa
N‟afumitibwa amaggwa ag‟omuge guli.
3.3. Yezu ng‟ali mu bbanga ery‟okuzirika
Yatunuulira Nnyaffe bw‟alumizibwa
N‟amulekera abantu n‟Omutume we,
“Nnyabo Omwana wo wuuyo gwe ndese ku nsi”.
4.4. Kaakati mmaze Yezu ebibi bye nkoze
Okukola ebibi eby‟edda byonna mbyenyiye,
Watunuulira abantu n‟otulokola,
Gutuyiikeko, ogwo nno gutulokole.
By: Fr. JamesKabuye



Uri kuririmba: Indirimbo ya 207 mu Catholic luganda