Indirimbo ya 210 mu CATHOLIC LUGANDA
210. ABAKRISTU MUWULIDDE
1. | 1. Abakristu, muwulidde 7. Abatume nabo bazze, Yezu nga bw‟asinze olumbe; Ne bayingira mu ntaana, Mujje mumusanyukire. Ne basanga nga njereere. Ekidd.: Alleluia. Alleluia Alleluia, alleluia. |
2. | 2. Ne Maria Magdalena 8. Obudde nga buwungedde, N‟abakazi abalala Yezu n‟ajja mu Baatume Bonna baakeera ku ntaana. Yabasanga bakunngaanye. |
3. | 3. Tibaludde, batuuseeyo, 9. Didimo baamubuulira, Banoonyezza omulambo Nga bwe balabye Omukama Sso ne batagusangayo. N’agaana okubakkiriza. |
4. | 4. Magdalena n‟abuulira 10. Toma laba ebiwundu, Abatume b‟Omukama. Mu bigere, mu bibatu Bajja babiri ku ntaana. Tobanga mukakanyavu. |
5. | 5. Yoanna yasinga embiro 11. Mu nnaku zonna enkulu, N‟adduka n‟ayisa Petro, Luno lwe lusinga essanyu; N‟amusooka ku malaalo. Katonda tumubbiremu. |
6. | 6. Malayika atukula 12. Obanga twegendereza, N‟abuulira abakyala, Naffe y‟alituzuukiza; Nti Yezu yazuukidde dda. Olwo ffenna nga twebaza. |
By: W.F. |