Indirimbo ya 214 mu CATHOLIC LUGANDA
214. ALLELUIA YEZU AZUUKIDDE
1. | (Fr. James Kabuye) Ekidd.: Alleluia, alleluia, alleluia, Yezu azuukidde, Agguddewo amagombe olumbe alugobye n’amaanyi azuukidde. Tuli mu ssanyu leero ku lunaku lwa leero, Tumukulisa nnyo Yezu Omuwanguzi. (Alleluia) Naffe tulizuukira oluvannyuma; (Alleluia) Yezu ffenna alituzuukiza, Twesiime naye emirembe. Alleluia, alleluia, azuukidde Yezu. |
2. | 1. Ku makya kuti abakyala baali bagobye ku ntaana eyo Yezu gye baamuteeka, Beebuuzizza tebalaba: oguyinja ku ntaana baagutadde wa? Kyokka gye baakuba amaaso ng‟omulyango gw‟entaana gwo nga muggule. Malayika w‟Omukama baamulaba, n‟abategeeza nti: Azuukidde. |
3. | 2. Mutubuulire abakyala gwe mukaabira mbadde nngamba Yezu yazuukidde. Anti munoonya Yezu ow‟e Nazareti, Taliimu, azuukidde nga bwe yagamba. Taliimu mujje mulabe, we baali bamutadde Yezu. |
4. | 3. Mmwe abalunngamu abakyala mudduke kufa okubuulira Abatume nti nzuukidde, Mugende e Galilaaya Yezu gy‟alaga, olwo mumulabe, Azuukidde nga bwe yagamba, taliimu, azuukidde. |
5. | 4. Abasanyufu abakyala baamulabako n‟agaabwe Yezu oyo muganzi waabwe, Ng‟abalamusa n‟omutima yabagumya: “Muleke kutya; mugambe Abatume, nti Nzuukidde, bagende e Galilaaya, |
By: |