Indirimbo ya 216 mu CATHOLIC LUGANDA

216. AZUUKIDDE / ALLELUIA


Ekidd:
: Azuukidde alleluia omuyinza wa byonna wuuno Yezu,
(Azuukidde) Leero asinze sitaani n’olumbe essanyu lingi
(Azuukidde) mu kitiibwa, n’agenda mu kitiibwa,
(Alleluia) Alleluia; Alleluia,
(Alleluia) Alleluia, Alle-lu-ia.
1.1. Ne Maria Magdalena, n‟abakazi abalala,
Bonna baakeera ku ntaana, nga banoonya Yezu,
Gwe baaziika luli, Taliiwo azuukidde,
Taliiwo azuukidde.
2.2. Ne Maria Magdalena, n‟abuulira Abatume abo,
Ne bajja bombi ku ntaana, nga banoonya Yezu,
Gwe baaziika luli, Taliiwo azuukidde,
Taliiwo azuukidde.
3.3. Yoanna n‟asinga Petro, n‟amusooka gye baaziika,
Bombi banoonya, mu ntaana nga baagala Yezu,
Gwe baaziika luli, Taliiwo azuukidde,
Taliiwo azuukidde.
4.4. Malayika yabuuza nti: Munoonya ani nga munyolwa?
Nga beewuunya baagamba nti: “Ffe tunoonya Yezu,
Gwe baaziika luli”, Taliiwo azuukidde,
Taliiwo azuukidde.
5.5. Olwaleero lukulu nnyo, lwe lusinga ennaku zonna,
Tumwebaze Yezu asaana, leero agobye olumbe,
Ffenna atununudde. Taliiwo azuukidde.
Taliiwo azuukidde.
By: Fr. James Kabuye



Uri kuririmba: Indirimbo ya 216 mu Catholic luganda