Indirimbo ya 217 mu CATHOLIC LUGANDA
217. AZUUKIDDE DDALA DDALA
1. | (Ponsiano Kayongo – Biva) Ekidd.: Azuukidde ddala ddala, alleluia Abaagalwa tuyimbe, alleluia Awangudde olumbe ne sitaani byonna Emagombe n’avaayo ng’ayakaayakana amyansa, Wa kitiibwa yenna, wa ntiisa, wa ntiisa, N’abambowa abakuumi bonna ne badduka. |
2. | 1. Omulwanyi Yezu awangudde, agobye olumbe Tusagambiza lwa ttendo, tuyimbe ffenna, alleluia Anti b‟akulembera tununuddwa, alleluia Twejage ddala atubbudde – aluwa walumbe aluwa? Aluwa walumbe aluwa? Takyawuuna, takyanyega, takyatala, Awanguddwa, mazima ddala aswaziddwa takyatala. |
3. | 2. Mmwe abamumanyi, ensi mwenna muyimbire Omukama, Mwebaze luno lwa ttendo Muyimbe mwenna, tweyanze ffe b‟akulembera tununuddwa Alleluia, mwebaze muyimbe mwenna Aluwa, walumbe aluwa? (bis) Takyawuuna, takyanyega, takyatala, Awanguddwa, mazima ddala aswaziddwa. |
4. | 3. Omusaayi gw‟Oyo ogwayiika okubeera ffe Gutubangula, tweyanze Kati anti ffe b‟alyoye, ddala baana ba luse beebonanye Laba ettiibwa, tusagambiza, twaweebwa Aluwa, walumbe, aluwa? ……… |
5. | 4. Akulembera ffe ffenna, tuwangule olutalo Naffe mu ggulu twesiime Tubeerenga eyo ewa Taata, anti tuli baana be, twesuneko Alleluia, twebaze tuyimbe ffenna Aluwa, walumbe, aluwa? …….. |
6. | 5. (a) Omuwanguzi Kabaka Ggwe, tunyweze nno tuli baana bo b‟olonze (b) Ggwe akulembera abatabaazi, tuwe amaanyi, Ggwe engabo etuwa obuwanguzi (c) Tuwera kimu ab‟oku nsi: Kunywera ffe tukuwondere n‟obuvumu (d) Nga tulumaze olutabaalo, tube Naawe, Ggwe Omulokozi alituweera. (Aluwa …………) |
By: |