Indirimbo ya 218 mu CATHOLIC LUGANDA

218. AZUUKIDDE DDALA DDALA


1.(Ponsiano Kayongo – Biva)
Ekidd.: Azuukidde ddala ddala, alleluia
Abaagalwa tuyimbe, alleluia
Awangudde olumbe ne sitaani byonna
Emagombe n’avaayo ng’ayakaayakana amyansa,
Wa kitiibwa yenna, wa ntiisa, wa ntiisa,
N’abambowa abakuumi bonna ne badduka.
2.1. Omulwanyi Yezu awangudde, agobye olumbe
Tusagambiza lwa ttendo, tuyimbe ffenna, alleluia
Anti b‟akulembera tununuddwa, alleluia
Twejage ddala atubbudde – aluwa walumbe aluwa?
Aluwa walumbe aluwa? Takyawuuna, takyanyega, takyatala,
Awanguddwa, mazima ddala aswaziddwa takyatala.
3.2. Mmwe abamumanyi, ensi mwenna muyimbire Omukama,
Mwebaze luno lwa ttendo
Muyimbe mwenna, tweyanze ffe b‟akulembera tununuddwa
Alleluia, mwebaze muyimbe mwenna
Aluwa, walumbe aluwa? (bis)
Takyawuuna, takyanyega, takyatala,
Awanguddwa, mazima ddala aswaziddwa.
4.3. Omusaayi gw‟Oyo ogwayiika okubeera ffe
Gutubangula, tweyanze
Kati anti ffe b‟alyoye, ddala baana ba luse beebonanye
Laba ettiibwa, tusagambiza, twaweebwa
Aluwa, walumbe, aluwa? ………
5.4. Akulembera ffe ffenna, tuwangule olutalo
Naffe mu ggulu twesiime
Tubeerenga eyo ewa Taata, anti tuli baana be, twesuneko
Alleluia, twebaze tuyimbe ffenna
Aluwa, walumbe, aluwa? ……..
6.5. (a) Omuwanguzi Kabaka Ggwe, tunyweze nno tuli baana bo b‟olonze
(b) Ggwe akulembera abatabaazi, tuwe amaanyi, Ggwe engabo etuwa
obuwanguzi
(c) Tuwera kimu ab‟oku nsi: Kunywera ffe tukuwondere n‟obuvumu
(d) Nga tulumaze olutabaalo, tube Naawe, Ggwe Omulokozi alituweera.
(Aluwa …………)
By:



Uri kuririmba: Indirimbo ya 218 mu Catholic luganda