Indirimbo ya 22 mu CATHOLIC LUGANDA
22. TUZZE GY’OLI BE WATONDA
1. | Tuzze gy‟oli be watonda Ggwe Tuzze tuutuno, Katonda Omutonzi omwagalwa! Tuzze gy‟oli tukusinze Oh! ow‟Amaanyi ow‟Obuyinza, Osaana kwagalwa. x2 |
Ekidd: | |
Ekidd: Tumukubire enngoma gwe twaniriza Omukama Nnyinimu Tumuyimbire ne mu nnyimba Afuga eggulu n’ensi ow’ettendo Wuuno amazima! Ali mu Nnyumba ye. x2 | |
2. | Twesiimye ffe mu kifo kyo Ggwe Tweyanze wano we tuzze Omutonzi omwagalwa Wamma, enju yo ya kitiibwa Oh! ow‟Amaanyi ow‟Obuyinza Osaana kwagalwa x2 |
By: Joseph Kyagambiddwa |