Indirimbo ya 230 mu CATHOLIC LUGANDA
230. WALUMBE BAAKUMALA
1. | EMPAPALA (Fr. James Kabuye) Ekidd.: Walumbe, walumbe, walumbe nga tokyawaza x2 Baakumala amaanyi Kristu bwe yava emagombe nga mulamu Yakumegga – Kati oli lutindo lwe tuyitako okutuuka mu Kitiibwa kya Kitaffe, mu kusanyuka okw’olubeerera. // Walumbe nga tukuwonye, walumbe nga tukuwonye, mirembe.// |
2. | 1. Enngombe erivuga, Kya mazima, enngombe erivuga Abafu ne bazuukira nga si ba kuvunda, si ba kufa – bonna bafuuse, Ekivunda kyambadde obutavunda, kino ekifa kyambadde obutafa. Yeebale Katonda eyatuwa ne tululinnyako mu Kristu Yezu Omwana we. |
3. | 2. “Nze kuzuukira, nze bulamu, anzikiriza ne bw‟alifa, aliba mulamu, Buli mulamu anzikiriza, talifa, talifa, emirembe talifa, talifa, Emirembe gyonna, nange ndimuzuukiza , ndimuzuukiza ku Lwoluvannyuma.” |
By: |