Indirimbo ya 233 mu CATHOLIC LUGANDA
233. YEZU LEERO ASINZE
1. | 1. Yezu leero asinze! 2. Olumbe sikyalutya Ffenna tusanyuke Yezu yalusinga N‟emmeeme ekube ejjebe Yezu yaluwangula Yezu leero asinze Olumbe sikyalutya. Asinze sitaani n‟olumbe Kwe nsinziira okukkiriza Mu nsi n‟eggulu Kye yalanga edda Mu nnaku enkulu Nti: Ndizuukira Lw‟azuukiddemu Akituusizza Lwe lusinga mu ssanyu; N‟avaayo n‟ekitiibwa. Tumubbiremu, Bwe tutyo ffenna Tuyimbe wamu; Oluvannyuma, Alleluia mu nsi n‟eggulu. Edda, tulimugoberera. |
By: W.F. |