Indirimbo ya 247 mu CATHOLIC LUGANDA
247. TUGENDE TUDDE EKA
Ekidd: | |
: Katonda yeebale Tugende tudde eka mu ssanyu mu ddembe lya Yezu. x2 | |
1. | 1. Twesiimye ffe abakkiriza, tweyagala, twebuuse Ffe ab‟oluganda mu Kristu. |
2. | 2. Mwesiimye bya kitalo nno, abasembedde ku mmeeza Ey‟Omukama Entukuvu. |
3. | 3. Twesiimye ffe b‟olyoye, tukkiriza ng‟oli mu ffe Ffe b‟okuuma mu nsi eno. |
4. | 4. Ffe abakristu Kristu b‟akunngaanyizza mu Lukunngaana Olutukuvu. Amawulire Agasanyusa, agalangiriddwa tugende nago Tugatuuse ne ku beeka. Emirembe gya Yezu gibabeereko. |
By: Alphonse Ssebunnya |