Indirimbo ya 249 mu CATHOLIC LUGANDA
249. TUSIMBE FFENNA MU KISINDE
Ekidd: | |
: Tusimbe ffenna mu kisinde Kya Mukama waffe Yezu, Tulimulaba mu ggulu lye Wamu n’Abatuukirivu. x2 | |
1. | 1. Ku lwa Batismu twalagaana, 3. Yezu Ggwe oli Katonda waffe Okuleka amasitaani, Wekka wekka gwe twagala, Twegaana n‟ebikolwa byonna. Obeeranga Mukama waffe, Ebitusuula mu bubi. Leero n‟emirembe gyonna. |
2. | 2. Yezu era tukulagaanya 4. Maria ggwe nnyina Katonda, Okukwata Evanjili yo, Era nnyaabwe w‟Abakristu, N‟okwebengula ku museemya, Otusabirenga ffe ffenna, Omanye, nga tuli babo. Tunywerenga ku Yezu. |
By: W.F. |